Abatuuze mu town council y’e Mateete bali mu ntiisa oluvanyuma lw’omukazi okutibwa mu bukambwe
Abatuuze mu town council y’e Mateete mu disitulikiti y’e Ssembabule bali mu ntiisa oluvanyuma lw’abantu abatategeerekese okutta munnaabwe mu kiro ekyakeeseza olwaleero. Omukazi atiddwa abadde atunda mwenge mu bbaala kko n’okusuubula emmwanyi mu kitundu kino kye Mateete.