Abatuuze e Mbarara bagala lutindo lw’e Kateete lukolebweko
Poliisi e Mbarara ekedde kugobagana n’abatuuze ababadde bavudde mu mbeera olw’abakulembeze obutakola lutindo lw’e Kateete. Bagamba bakooye okuwudiisibwa buli kiseera nga olutindo bwerugenda okukolebwa nga kati lumaza ebbanga tekuli mmotoka yonna ekirizibwa kuyitako olw’embeera mweruli.