Abantu abawangaalira ku kizinga ky'e Bussi basula bakukunadde olw'ettaka
Abantu abawangaalira ku kizinga ky'e Bussi mu disitulikiti y’e Wakiso basula bakukunadde olw’abantu abatannaba kutegeerekeka okutandika okubatiisatiisa nga bwebagenda okubagoba ku ttaka nti baaligula. Ekyennaku bagamba nti waliwo ebyappa ebyafunibwa ku ttaka lino, nebanenya minisitule y’eby’ettaka okufulumya ebyappa bino nga bbo tebategeezeddwako. Ye omwogezi wa ministry y'eby'ettaka agumizza abantu obutaba nakutya kubanga bagezaako kwerula mpenda nga kin kikolebwa okwetoolola eggwanga lyona.