Abalamazi abava e Fort Portal ne Ankole bassembedde
Webuwungeeredde nga abalamazi abaasimbula ku bbalaza okuva Fort portal nga bakatambula kilomita 86, mu kaweefube waabwe ow’okutuuka e Namugongo. Bano bali wamu ne banaabwe abaava mu ggwanga lya Congo, nga bano bagamba nti omulamwa ogw’abaleeta gwa kusabira ntalo eziri mu ggwanga lyabwe zikakkane. Wetwogerera nga bali mu kkubo okwolekera disitulikiti ye Kyegegwa ku lugendo lwa kilometa endala 36.