Abakulira ekika ky'e Ffumbe bawakanyiza ebyasaliddwawo kkooti
Abakulira ekika kye Ffumbe bawakanyiza ebyasaliddwawo kkooti ya Kisekwa olunaku lw’eggulo, eyategeezeza nga omukulu w’e Kika aliko Walusimbi Yusufu Mbirozankya yalya ensowole. Bano bagamba kkooti ya Kisekwa okujjako Jjajja bwe ku bukulu bw’ekika kyabwe tekyasaliddwawo mu mutima mulungi. Bano era bakalambira nti okusala omusango guno mu ngeri eyo, kyakoleddwa olw’obunyiivu bw’abakulira Mengo, olwa Jajjabwe Walusimbi, okukulemberamu abataka abamu okugenda okusisinkana Pulezidenti Museveni okwo kwosa n’okugenda e Namibia okulaba Kabaka gyebuvuddeko.