Abakulembeze mu Kakiri tawuni kanso batongozezza omulimu gw’okugaziya eddwaliro lyabwe
Abakulembeze mu Kakiri tawuni kanso batongozezza omulimu gw’okugaziya eddwaliro li Kakiri Health center III, kiyambe okwongera ku bungi bw’abalwadde abajanjabwirwa mu ddwaliro lino. Eddwaliro lino lya kuwementa akawumbi akasoba mu kamu wabula nga ezimu kunsimbi bazikunganyizza okuva mu musolo oguweebwa abatuuze.