Abakadde bakukkulumidde gav't okuteeka eddagala mu malwaliro
Abakadde bakukkulumidde gav’t okulemererwa okuteeka eddagala mu malwaliro gaayo ekizibuwaza obujjanjabi bwabwe. Bano bagamba batawanyizibwa endwadde ez’enjewulo kyoka bwebagenda mu malwaliro tebasangayo ddagala. Okwogera bino babadde ku mikolo gy’okukuza olunaku lwabwe olubadde ku kibangirizi ky’amenunula e Masaka - eno amyuka omukulembeze w’eggwanga Jesca Alupo akubiriza abakadde okukola dduyiro okulwanyisa endwadde ezibalumba.