Abaana 7 bafudde ekiziyiro e Kitenga
Abaana Musanvu bafudde ekiziyiro ku kyalo Lwengabi mu gombolola ye Kitenga e Mubende, oluvanyuma lw’okweggalira mu tundubaali nga enkuba etonya.
Bano baali bakuba olusisira ku kyalo kino ne bazadde baabwe nga gyebalimira, enkuba bweyatonye nga bazadde baabwe tebaliiwo nebayingira mu tundubaali lino omwabadde e ssigiri okukakkana nga bafudde e kiziyiro.