Aba NUP 10 bakwatiddwa lwa kubeera n'ebyambalo bya poliisi
Poliisi mu Kampala etegeezeza nga bwekutte abantu 10 kubigambibwa nti bano basangiddwa n’ebyambalo ebyekuusa ku by’amagye.
Abakwatiddwa banna NUP, kyoka nga ye omukaba Derrick Nyeko eyategeezeddwa nti yabadde akwatiddwa agamba kuno kutiisibwatiisibwa okubajja ku mulamwa.