Ab'e Bushenyi basabye gavt abayizi mu masomero bayigirizibwe okutereka
E Bushenyi abaayo basabye gav’t abayizi abali mu masomero bayigirizibwe enkola y’okutereka olwo lwebanaasobola okubbulukuka emitego gy’enkulaakulana. Bagamba abantu abantu olw’obutamanya kutereke kyekiremeseza n’enteekateeka y’e myooga okubukala mu disitulikiti eno. Okwogera bino babadde basisinkanye minisita wa microfinance Haruna Kyeyune Kasolo ali mukulondoola enkola y’enteekateeka eno.