YINSUWA Y’EBYOBULAMU EY’EGGWANGA :Ababaka baabadde Luwero nga baliko bye beetegereza
Ababaka abatuula ku kakiiko k’eby’obulamu mu Parliament babadde mu District ye Luwero okwetegereza n’okumanya engeri enkola ya yinsuwa y’eby’obulamu gyeddukanyizibwamu mu kitundu okusobola okumanya biki eby’okutereeza mu baggo ly’etteeka ly’a Yinsuwa y’ebyobuamu ery’e ggwanga lyonna. Ebbago ly’ettaaka lino lyali lyayisibwa parlimane eye 10 omwaka oguwedde wabula omukulembeze we ggwanga nagaana okulisaako omukono ngagamba mulimu ebikyalina okuterezebwa.