Wuuno omusajja atobye n’abaana be 7 omukazi be yamulekera
Ennaku zino kyafuuka kya bulijjo omusajja okusuulawo amakaage, abaana n’abalakera omukyala okubakuza nga tamuwa na buyambi. Kyoka kikolera ddala amawulire okusanga omusajja eyeefubyeko okukuza abaanabe oluvanyuma lw’omukyala okubamulekera.Kati leero katulabe emboozi ya Ibrahim Ssentongo omutuuze we Kasambya mu disitulikiti ye Mubende afubye okukuza abaanabe omusanvu,oluvanyuma lwa nyaabwe okubasuulawo nadduka n’omusajja omulala.