Wuuno omukyala amaze emyaka 4 mu kusuubula ebyennyanja
Ku kyalo Butabakulu mu Gombolola ye Mannyi mu district ey’emityana waliwo omukyala eyakamala emyaka enna ng’asuubula eby’enyanja ku Nyanja Wamala kyokka nga y’abyeevugira ku Bodaboda okubitwala mu butale. Omukyala ono Sylvia Namande yatandka n’emitwalo esatu kyoka kati aweza kapito wa bukadde kkumi n’omusobyo.