ENKYUKAKYUKA MU BY’OKULONDA: E Wakiso abeesimbyewo basabiddwa okwetereeza nga bukyali
Oluvanyuma lw'akakiiko k'ebyokulonda okukyuusa ennaku z'okwewandisizaamu eri abaagala okuvuganya kubifo eby'enjawulo, akakiiko k'eby'okulonda e Wakiso kasabye abaagala okuvuganya okubeeyunira okumanya ebyetaagisa okwewala okutataganyizibwa. Akulira eby'okulonda e Wakiso Tolbert Musinguzi agamba okuva akakiiko lwekaddamu okulamba ebifo awalonderwa n'okukyusa amanya gaabyo abantu bangi besanze nga tebamanyi watuufu webagwa. Okusinziira kunteekateeka ennongooseemu ezafulumiziddwa akakiiko k’ebyokulonda, abakulembeze mu gavumenti ez'ebitundu bakutandika okwewandiisa nga 3 omwezi ogujja nga bakutandika n'abaagala okuvuganya ku kya ssentebe wa district ne bakansala ba disitulikiti.