EBYOKULIWA AB’E KITEEZI: Aba KCCA bagamba si be bavunaanyizibwa obutereevu
Ekitongole KCCA kigamba nti ssikyekivunaanyizibwa obutereevu ku kukuliyirira abo abaakosebwa enjega y’e Kiteezi, newankubadde nga bebaali bavunaanyizibwa ku kirombe kya Kiteezi. Mu kwogerakao ne NTV, akulira KCCA Sharifah Buzeki, ategeezezza nti KCCA ogwayo kwakukunganya ebyo ebikwata ku baakosebwa olwa omubalirizi wa gavumenti asalawo kw’ani agwanye okuliyirirwa n’omuwendo gwa ssente zaalina okufna. Kyoka yyo minisitule y’ebigwa tebiraze etugambye nti yamaliriza dda okusasula abo beyali evunanyizibwako.