AMAWANGA AGASUULIRIDDWA: Waliwo abasabye bakiikirirwe mu Palamenti
Ab'amawanga agasuuliriddwa gayite Indigenous Minority Groups wano mu Uganda baagala nabo bakiikirirwe mu palamenti okusobola okuggyayo ensonga ezibanyigiriza. Bano bagamba nti balekeddwa ebbali mu mpeereza ez'enkizo kko n'ebyenkulaakulana songa nabo bannayuganda ng'abalala. Abakakiiko k'obwenkanya ka Equal Opportunities Commission n'abakaakiko k'eddembe ly'obuntu baagala wabeewo ennongoosereza mu ssemateeka okussaamu amawanga kika kino agaalekebwa ebbali ku lukalala lwamawanga agali mu Uganda.