Abaana ba munnamagye eyafa beekubidde enduulu, bagoba ku by’akasiimo
Walio abaana abavuddeyo okwekuubira endulu mu gavumenti wamu n’amagye ga Uganda okubayamba okufuna akasiimo keeyaali munnamaggye omugenzi John Patrick Gumanan. Bagamba nti okuva kitaabwe bwe yafa mu 1994 tebaafunanga kasiimo ke oba pension akabalirirwamu obukadde obusoba mu 170. Wadde nga bagezezzaako okwetawula mũ office eziwerako wamu nènkambi y’amagye e Mbuya naye tebaafunanga kuddibwamu kwonna kyokka nga empapula zonna ezeetaagusibwa baaziwaayo.