Wuuno Bashir Mugoowa eyeenyumiriza mu muggalo
Ekiseera ky'omuggalo kyaleetawo okusomooza kwamaanyi eri abasomesa olwamasomero okuggalwa. Bangi banoonya ekyokulya nekibabula, so nga waliwo abamu abasobola okubaako byebatetenkanya okweyimirizaawo. Bashir Mugoowa agamba ekirwadde ki Covid-19 kyamuggula amaaso era nga omulimu gwobusomesa yagusuddewo, kubanga buzineesi gyeyatandika mu muggalo akilabye nga emuyimirizaawo bulungi okusinga obusomesa.