Waliwo abalumbye amaka ne batta abafumbo babiri
Police mu bitundu by'e Ntebe eri ku muyiggo gw'abatemu abatannaba kutegeerekeka abaalumbye amaka agasingibwa e Lugonjo mu Nakiwogo nebafumita bannyinimu emyambe emyogi egitaabalekedde bulamu. Abagenzi bategeerekese nga ye David Mutaaga ne mukyala we Deborah Mutaaga nga bano baabadde kyebajje bave mu ggwanga lya Switiziland gye bababde okumala emyaka 30 nga kuno baabadde bakomyewo okuwummulira wano. Abalumbaganyi tebalina kintu kirala kyonna kye baakutteko okuggyako okutwala obulamu, ekiresseewo ebibuuzo ku kiki ddala ekyabadde ekigendererwa kyabwe.