Waabaluseewo ebbula ly’eddagala erijjanjaba obulwadde bwa nnalubiri e Mulago
Nga nnamba y'abantu abafa olw'ebirwadde ebitasiigibwa oba biyite non-communicable diseases yeyongera, ate wabaluseewo ebbula ly'eddagala ery'omugaso ennyo mu kujjanjaba ekirwadde kya Nalubiri oba Sickle cells mu ddwaliro ekkulu e Mulago. Kino kiwalirizza abalwadde ba Nalubiri abali eyo mu mutwalo gumu n’ekitundu okunoonya sente okuligula awalala. Bwabadde atongoza ekifo awajjanjabirwa endwadde eno e Mulago, minisita w'ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng agambye nti gavumenti tennaba kusalira kizibu kino magezi naye essuubi eririna mu kampuni ezikola eddagala.