UMEME ebangudde ab’e Sebei ku bulabe obuli mu kubba amasannyalaze
Ekitongole ky’amasanyalaze ki Umeme kisazeewo okubissaamu engatto okwolekera ettundutundu ly’e Sebei okusomesa abaayo ku bulabe obuli mu kubba ebintu ebikosezebwa ekitongole kino n’okubba amasannyalaze. Gyebuvuddeko abantu abafiira mu buvuyo bw’okwewanika ku mitti okubba ebikozesebwa bya Umeme n’ababba amasannyalaze ewaka gubadde gweyongedde. Kino kirowoozebwa okuba nga kivudde oba oli awo ku butamanya mu bantu bano, nga y’ensonga lwaki essira balisimbye ku bakulembeze bebaagala basasaanye enjiri eno.