TWAGALA SSENTE: Abasawo abalwanyisa Ebola e Mubende bategeka kwediima
Abasawo abakola mu kimu ku bifo awajjanjabirwa ekirwadde kya ebola ki Kaweri Ebola Treatment Unit bategeezezza nga bwebagenda okussa wansi ebikola okutandika n'enkya olw’obutasasulwa nsako yabwe, saako obutabawa contract zirambika mirimu gyabwe. Ekitongole ekigatta abasawo kigamba bano bwe bagenda mu maaso n'okwekalakaasa kyakukosa olutalo olwokulwanyisa Ebola mu district eno nebasaba ministry y'ebyobulamu okwanguwa okukola ku nsonga zabwe. Ne Ministry eriko by'eyogedde ku nsonga eno.