Ttiyaggaasi anyoose ng’abeesenza mu lutobazi lwe Kititi e Masaka bagobwa
Poliisi mu distulikiti y’e Masaka ekubye omuka ogubalagala mu bantu abeseenza mu lutobazi lw’e Kititi mu gombolola y’e Kyanamukaka okusobola okubasengulamu. Abavunaanyizibwa ku butonde bw’ensi bagamba nti abantu babadde basusse okwesenza mu ntobazi naddala nga balimiramu. Kyokka abatuuze abagobeddwa balazze okunyolwa olw’obutaweebwa budde kutaasa birime byabwe wamu n’ebintu byaabwe ebirala.