Ttiimu ya Handabll ey’abakyala ey’eggwanga eyitiddwa mu za Africa
Ttiimu y'abakyala abazannya handball yeemu kwezo ezaayitiddwa okwetaba mu mpaka za Africa zi All Africa Games okuva nga March 8-24 nga zino zaakuyindira mu ggwanga lya Ghana. Empaka zino zisuubirwa okuyamba ttiimu eno okwongera ku mutindo gwayo okusobola okwetaba mu mpaka ku mutendera gw'ensi yonna Bano baasemba okukiika mu mpaka zino mu 2019 era baaviirako ku luzannya lwa quarter fayinolo.