Tamanyiddwako mayitire: Waliwo munnansi wa Sudan amaze omwezi nga talabikako
Waliwo bannansi ba Sudan abadduka ekibambulira ky’olutalo mu nsi yaabwe abasobeddwa oluvannyuma lwa munnaabwe okubabulako e Najjeera gye bapangisa. Kaakano awezezza omwezi gumu nga tamanyiddwako mayitire. Ono yali musomesa mu yunivaasite eyitibwa Bahri mu kibuga Khartoum nga tannadukayo lutalo. Poliisi ya kuno egamba yasembayo okumulabako mu kamera z’oku nguudo enkessi nga atambula yekka ku kkubo mu bitundu bye Najjeera.