SSENTE Z’OKWEYIMIRIRWA: Besigye agenze mu kkooti enkulu
Munna FDC Dr. Kizza Besigye ataddeyo okujulira kwe ng awakanya ensala y'omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road olunaku lweggulo eyamulagidde asasule akakalu ka kkooti kabukadde amakumi asatu ate nga zaabuliwo alyoke yeeyimirirwe. Besigye yagaanyi okusasula ensimbi zino nasalawo agende e Luzira , nalagagira bannamatteeka be okugenda mu kkooti bajjulire ku nsonga eno . Ekibiina ekitaba bannamatteeka kitegeezezza nga ensimbi ezasabidwa kkooti bwezaasukiridde nga tezigya mu musango ogwabadde guvunaanibwa Besigye . Ekitongole ekiramuzi kigamba tekiraba nsobi na nsimbi zino.