SSENTE Z’EDDWALIRO ZIMUREMYE: Eyazadde abasatu eddwaliro limuremeredde | Wereza obuyambi - 0773735056 Amos Tumwesigye
Waliwo omukyala eyazaala abaana basatu atubidde nabo mu ddwaliro ly’e Kiwoko mu district y’e Nakaseke oluvanyuma lw’okubulwa sente ezisasula ebisale by’eddwaliro. Nuluyaati Nabakooza omutuuze w’e Busula mu Luweero yali mu kudaaga oluvanyuma lw’okuzaala abaana nga tebatuuse neba babikkira mu kyuuma. Ono bamusalira omutemwa gwa kakadde kamu n’emitwalo 20 kyoka ekitongole ky’eddwaliro n’ekimusasulirako emitwalo 80 nga kati emitwalo 40 zezagaanyi, era saba buyambi. Wereza obuyambi - 0773735056 Amos Tumwesigye