Ssaabasumba Lwanga afunye omusika, bannaddiini bamusibiridde entanda
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga anoogaanyizza eky'okukuuma n'okunyweza obuwangwa mu kaweefube w'okuzza Buganda ku ntikko. Mayiga abadde yeetabye ku mukolo gw'okusaako omusika w'eyali ssaabasumba wa Kampala Cyprian Kizito Lwanga oguyindidde e Kyabakadde mu Mukono. Ssaabasumba wa Kampala Paul Ssemogerere yakulembeddemu missa y'okussaako omusika wa Lwanga.