SSAABALABIRIZI W’ABA SEVENTH DAY: Enteekateeka y’emikolo gy’okumuttikira ewedde
Omulabirizi wa Central Uganda Conference mu Kkanisa ya Seventh Day Adventist Omusumba Samwiri Kajoba alangiridde enteekateeka z’okutuuza ssaabalabirizi wa w'ekkanisa y’aba Advent mu Uganda Pr. Dr. Moses Maka Ndimukika. Emikolo gyakubeera Najjanankumbi SDA church nga ennaku z'omwezi 26 omwezi guno nga ye ssaabiiti eno. Okusinziira ku bateesiteesi omukolo gwakwetabako abantu batono olw’okwerinda n’okutangira okusaasaana kw’ekirwadde kya Ebola.