Sipiika ayambalidde aba NUP olw’okugoba Mapenduzi
Sipiika wa palamenti Anita Among agaanye enkyukakyuka ezaakoleddwa ab’oludda oluvuganya gavumenti okugoba omubaka wa Badege Layibi Ojala Mapenduzi ku bwa ssentebe w'akakiiko akalondoola ensaasaanya y'ensimbi mu gavumenti ez'ebitundu. Okusinziira ku Sipiika, palamenti eyawamu yerina okusalawo eky’enkomeredde ku Mapenduzi sossi ab’oludda oluvuganya bokka.