Robert Kyagulanyi awera, ayanjudde ekifaananyi kw’ananoonyeza akalulu ka 2026
Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu atongozza ekipande ky’agenda okukozesa ng’awenja obuwagizi mu kalulu ka 2026.Kyagulanyi akikkaatirizza nti wakwetaba buterevu mu kalulu kano okuvuganya ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga era aweze nti wansi w’omulamwa gwabwe kwebagenda okutambulira ogwa Protest vote mwetegefu okuvaayo n’obuwanguzi.