RHODA KALEMA: Omwoyo gwe bagusabidde e Namirembe
Abakyala abali mu bifo by’obukulembeze kko n’ebyobufuzi boogedde ku mugenzi Rhoda Kalema nga eyakola ennyo okulaba nga beegazanyiza mu kisaawe kino ekyali kimanyiddwa nti kya basajja bokka.Bino babyogeredde ku lutikko e Namirembe mu kusabira omwoyoo gwomugenzi eyava mu bulamu bwensi eno ku sande ewedde.Ye Nnaabagereka Sylvia Naginda amusiimye olw’okumuwabula ennyo nga atandika enkola ey’ekisakaate.