E Luweero emmotoka 17 ze zaakabbibwa
Poliisi etubuulidde nti emmotoka 17 zezaakabbibwa mu disitulikiti ye Luweero mu bbanga lya myezi musanvu , okuva omwaka guno lwegwaatandika. Tukitegedde nti waliwo abantu baangi abateberezebwa okubba motoka zino Poliisi b’ekutte ng’abamu baatula nti bebazibba kyoka n’ebayimbulwa nga tebakomezaawo neemu. Ab’obuyinza bagamba nti baliko webatuuze okulwanyisa obunyazi buno obubaluseewo.