Kadaga agamba okulonda Kwa CEC Tanga Odoi takwetabaamu
Eyaliko omukubiriziza w'olukiiko lw'eggwanga Rebeca Kadaga ayagala atwala eby’okulonda mu kibiina kye ki NRM Tanga Odoi addeko ebbali ssi nakindi alekulire ku kifo kino nga okulonda olukiiko lw'ekibiina olukulu olwa Central Executive Committe tekunatuuka. Kadaga agamba nti mu bukulembeze bwa Tanga Odoi emivuyo mingi egyeyolekedde mu kalulu k'ekibiina ekiviiriddeko okutattana ekifaananyi ky'akyo mu bantu. Kadaga abadde asisinkanye abakulembeze ba NRM mu district y'e Wakiso okubaperereza bamulonde ku kifo ky'omumyuka wa ssentebe ow'okubiri mu kibiina.