OBUWEEREZA MU UPDF ab’amadaala aga waggulu baakuwummuzibwa
Olunaku olw’enkya omukulembeze w’e ggwanga era omuduumizi w’amaggye ow’onkuntikko Yoweri Kaguta Museveni asuubira okuwuumuzza bannamaggye abamadaala agaawaggulu musanvu nga bano batutte abbanga nga baweereza eggwanga. Ayogerera amaggye ge ggwanga Maj. General Felix Kulayigye atubuulidde nti abagenda okuwummula bebamu kwabo 1300 abaali abamadaalaia agawansi abaawummula mu mwezi oguwedde. Mu benkizo abasuuubirwa okuwummula omwaka guno kwekuli ne General Katumba Wamala eyaliko omuduumizi wamaggye ge ggwanga.