OKULONDA KWA 2026: Akakiiko kakyusiizza mu nnaku z’okusunsula
Akakiiko k’ebyokulonda ka Electrol Commission kakyusizza mu nnaku z’omwezi ez’okusunsulirako abanaavuganya ku bifo ebirondebwa ku mitendera egy’enjawulo oluvannyuma lw’okulaba nga kaali kagattise ebifo eby’enjawulo mu nnaku z’omwezi z’ezimu ekibadde kitagenda kulabika bulungi. Akulira akakiiko Omulamuzi Simon Byabakama ategeezezza nti abalonzi abaakeewandiisa bali mu bukadde 21 kyokka akakiiko kakyagenda mu manso n’okulongoosa enkala nga tekannalangirira muwendo ogw’enkomeredde.