ENJEGA Y'E KITEEZI:Abaafiirwa abaabwe tebakyebaka
Okubumbulukuka kwa Kasasiro e kiteezi buli omu kwamukosa bubwe, waliwo abafiirwa eby’obugagga ng’amayumba,ebisolo kko n’ebirara,kyoka waliwo n’abafiirwa abaabwe - wewaawo waliwo n’abaasimattuka ne bisago ebyamaanyi.Eri abafiirwa abaabwe- enjega eno teribava ku kumutima - kirisigala nga ekirooto eky’entiisa gyebali kyebalinyumizaako abaana n’abazzukulu mu mirembe egyirijja.Kati nga tusembeere okujjukira nga bweguweze omwaka mulamba bukyanga kitundu kino kituuka ttambiro tunoonyezza ku bafiirwa abaabwe okutunyumiza byebaayitamu mu kaseera kano.