EMIVUYO MU KAMYUFU KA NRM: Akakiiko ka kufuumula abasoba mu 1000
Ekibiina ki National Resistance Movement kiteekaateka okugoba abakulira eby’okulonda mu kibiina abasoba mu 1000 okwetoloola eggwanga oluvannyuma lw’ebigambibwa nti beenyingira mu mivuyo egy’atattatana akamyufu k’ekibiina akaakaggwa.Okusinziira ku ssenkulu w’akakiiko kano Tanga Odoi, abamu ku bantu baabwe bano bagenda kubaweereza mu mbuga z’amateeka battunke n’emisango.N’okutuusa kati, akakiiko ak’enjawulo akassibwayo okukola ku kwemulugunya okwavaayo mu kamyufu kano, kakyagenda mu maaso n’okuwa ensala yaako.