Poliisi etandise okunoonyereza ku muwaabi wa gav’t eyafiiridde mu nju e Wampeewo
Poliisi mu Kampala etandise okunoonyereza ku nfa y'abadde omuwaabi wa gavumenti Fatuma Nabiwemba eyasangiddwa mu maka ge ngafudde akawungeezi kajjo. Nabiwemba abadde akola ku misango gy'ettaka abadde abeera yekka mu maka ge agasangibwa e Wampeewo mu bitundu bye Wakiso. Omulambo gw'ono okutuuka okuzuulwa ng'amaze ennaku nga ssatu ng'afudde.