Poliisi ekutte 23 ne satifikeeti za COVID-19 enjingirire
Poliisi ku kisaawe ky’ennyonyi Entebbe eriko abantu 23 bekute nga balangibwa kujingirira mpapula ku kirwadde ki Covid_19 basobole okufuluma ebweru w'eggwanga Bano nga babadde baakulinya ennyonyi ez’enjawulo bakwatidwa era nga mulimu n’abakungu ba government. Abakulira ebyobulamu ku kisaawe entebbe bagamba nti okujingirira ebiwandiiko ku Covid-19 kweyongedde era nga obuzibu basinze ku bufuna mu bakungu ba gavumenti abatayagala kutegeeza oba beekebeza nga amateeka bwegaragira. Poliisi ekakasiza nga bwewaliwo abakwatiddwa.