Poliisi ekutte 16 nga Museveni azzaayo empapula
Omukulembeze w'egganga Yoweri Museveni akakasiddwa akakiiko k'ebyokulonda mu NRM okwesimbawo ku bwa ssentebe b'ekibiina kino n'okukikwatira bendera mu kalulu ka 2026. Kitegerekese nti Museveni tafunye amuvuganya ku bifo bino luvannyuma lwabaabadde bamwesimbyeko obutaba na bisaanyizo byetaagisa. Ebyokwerindda nabyo bibadde binywevu ku nguudo za Kampala era nga Poliisi etubuulidde nti ekutte abantu abasukka mu 10 ababadde bagezaako okukola effujjo.