Palamenti esiimye abasawo abalongoosa abannabansasaana e Soroti
Palamenti entendereza abasawo mu ddwaliro ly’e Soroti Regional Referral Hospital abaayawula abalongo bannabansasaana nga n’omu ku balongo bano abawala yali mufu mu kiseera okulongoosebwa we kwakolerwa. Palamenti era eyagala amangu ddala gavumenti yewoole ssente egule ebikozesebwa ebiteeke mu ddwaliro lino egatteko n’okuliddaabiriza