Owa NUP omulala abuziddwawo: Yaggyiddwa ku siteegi ya boda boda mu kampala
Ab'ekibiina ki National Unity Platform beekubidde enduulu olw'abantu baabwe ababuzibwawo mu ngeri etategeerekeka. Okusinziira ku Ssaabawandiisi w'ekibiina kino waliwo mmemba w'ekibiina Ki Freedom eky'abawagizi ba NUP Abavuzi ba Boda eyabuziddwawo eggulo nga tannamanyibwa mayitire. Nasif Mulindwa yaggyiddwa ku siteegi ya Boda Boda esangibwa ku kizimbe ekiyitibwa Kamu Kamu nga kiri ku Luguudo lw'e Ntebe wano mu Kampala.