Owa NUP eyaweereddwa obwa RDC ayabulidde ekibiina
Bannabyabufuzi n’abayimbi abaagobeddwa mu kuziika kitaawe wa Meeya wa Kyengera Town Council Mathias Walukagga batadde akaka nebalangira ab’ekibiina ki National Unity Platform obusiwuufu bw’empisa. Bino byabadde ku kyalo Kinyerere mu kibuga Masaka era nga mubaagobeddwa ku mukolo, n’omumyuka wa RDC w’e Lwengo omujja Robert Kambugu naye mwebaamutwalidde. Kambugu bulijjo aba NUP bamumanyi ng’omwogezi w’ekibiina mu bitundu by’e Masaka kyokka kyababuseeko okumulaba ku lukalala lwa ba RDC olwafulumiziddwa yafeesi y’omukulembeze w’eggwanga.