Ow’e busia eyatemwako okugulu olw’essasi ayagala gav’t emusasule ssente kkooti ze yalagira
Omusajja eyatemwako okugulu oluvannyuma lw'omusirikale wa poliisi okumukuba essasi e Busia, awanjagidde gavumenti emuwe ssente ze kkooti ze yasalawo aliyirirwe. Mu nsala ya Kkooti eyafuluma nga 20 ogwokusatu mu mwaka gwa 2020, Ediriisa Natiti yalina okuweebwa obukadde 168 olw'obuvune obwamutuusibwako wabula negyebuli eno tazifunanga. Ono agamba takyasobola kukola so ngalina okulabirira abaana be bataano n'omukyala. Ne Poloti ennyumba ye kweri yagisingayo mu bawozi b'ensimbi asobole okufuna ssente ezamujjanjaba mpozi n'okwewuuba mu kkooti ngagoba ku byomusango gwe.