Omuzannyo gwa Skate Boarding: Olugendo lw’okugutumbula lukyali luwanvu
Mu mwaka gwa 2005, Munnayuganda Jackson Mubiru yatandikawo ekisawe ky’omuzannyo gwa Skate boarding e Mutungo gy’azaalibwa oluvannyuma lw’okuguyigira ku Munnansi wa South Africa shaw Swat gweyasisinkana e Lugogo. Omuzannyo guno mukiseera ekyo ogwali gutannateekebwa ku lukalala lw’emizanyo gya Olympics, kati wetwogerera gwegumu ku mizannyo egigenda okwetabwamu mu Olympics z’omwaka guno ezijibwako akawuwo nga 26 ogw’omusanvu mu kibuga Paris ekya Bufalansa. Wabula ebyembi tewali munna Uganda yayitamu kwetaba mu mpaka zino mu muzannyo gwa skateboarding.