OMUTIMA GW’OBUZADDE GUNNUMA: Maama wa Ssegirinya alumbye palamenti
Ab’ebyokwerinda ku palamenti banguyidde nyinna w’omubaka Muhammad Ssegirinya okumulemesa okugumbawo nga ayagala okulaba sipiika Jacob Oulanyah amuyambe asobole okulaba ku mwana we. Ono yabadde awerekeddwako muwala we omulala abadde amukwatiddeko akakeeka keyazze yeesomye okwala mu lujja lwa palamenti okutuusa nga sipiika akkiriza okumulaba. Ekisinga okweraliikiriza Ssanyu Nakajumba, y’embeera omwana we gy’alimu mu kkomera e Luzira so nga ennaku zino takyakkirizibwa kumulabako, ekyongedde okumulumya omutima.