OMUSUJJA GW’EMBIZZI: E Masaka ab’obuyinza bataddewo kalantiini w’embizzi
Ab’obuyinza mu kibuga n’e mu district ye Masaka batadde kalantiini ku mbizzi oluvanyuma lw’okubalukawo omusujja gw’embizzi mu kitundu kino. Abantu baangi abafiriddwa embizzi zaabwe olw’omusujja guno okuli n’aba sisiter mu kigo ky’e Kitovu abafiriddwa embizzi ezisoba mu 30 mu bbanga lya sabiiti emu yokka.