Omusango g’okulonda ogwa meeya w’entebbe guzziddwayo mu kkooti enkulu
Kkooti ejulirwamu eragidde okwemulugunya okwatwalibwa munna DP Vicent Kayanja De Paul , nga awakanya obuwnaguzi bwa Fabrice Rulinda kuddemu kuwulirwe mu kkoti enkulu .Kkooti enkulu yali yagoba okusaba kwa Kayanja nga egamba nti ebigambo bye kweyesigama okwemulugunya byali bya mbu .