Omulangira Kassim Nakibinge avumiridde ebyobufuzi ebyawula
Bannabyabufuzi balabuddwa ku by'obufuzi ebyawulayawula mu bantu nga basinziira ku ddiino oba amawanga. Bino bibadde mu bubaka Jjaja w'obusiraamu Kassim Nakibinge bwatisse Supreme Mufuti Muhammad Galabuzi mu kulomba Duwa ya Ahmed Malende nga ye Kitaawe w'omubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende. Omulangira alabudde ku kabaate akali mu by'obufuzi kika kino.